Emmotoka y’amaggye ewabye neyingirira ekizimbe mu kitundu kye Kagoma, ku luguudo lwe Bombo, okuliraana essuundiro ly’amafuta erya Be energy petrol station .
Lukululana y’amaggye No H4DF 2945 ebadde eva Kampala ng’eyolekera Bombo, y’efunye akabenje.
Okusinziira ku nannyini kizimbe ekitomeddwa mmotoka, Paddy Kakumba agambye nti abantu abawerako ababadde mu kizimbe balengedde ekimmotoka kijja emisinde nga kyolekera gyabali, bakozesezza obwangu okudduka okutaasa obulamu.
Ebintu ebiwerako by’onoonese wabula tewali muntu alumiziddwa.
Police etuuse mangu n’amagye nebagisikayo mu kizimbe.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny