Eyali Omubaka wa president e Lubaga Anderson Burora Herbert asindikiddwa ku alimanda ku kkomera e Luzira, ku misango gy’okusiga obukyayi n’okuvvoola sipiika wa parliament Annet Anitah Among.
Kigambibwa nti Burora alina obubaka bweyayisa ku mutimbagano ku kibanja kye ekya X, wakati w’omwezi gwa March ne June 2024, nti bwali busobola okusiga obukyayi mu bannauganda nebakola obulabe ku sipiika. Among.
Burora asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road n’aggulwako emisango gy’okukozesa obubi computer, wabula agyegaanye.
Asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 09 July,2024, lwanaddamu okulabikako mu kooti, ng’oludda oluwaabi luttaanyizza ku nsonga ezanjuddwa bannamateeka b’omuwawabirwa.
Bagamba nti emisango egigguddwa ku muntu wabwe tegirambikiddwa bulungi, nti kubanga teginnyonyola bigambo byennyini ebimuvunaanwa nti byeyawandiika era nti bisiga obukyayi.
bweyakwatiddwa era yasuze mukaddukulu ka police ya Kira road.
Burora nga tanakwatibwa yatadde obubaka ku mitimbagano ng’ategeeza nga bwewaabaddewo abantu ababadde bazinzeeko amakage.
Anderson Burora Herbert yaliko omukulembeze w’ekisinde kya Jobless Brotherhood, ekyakolokotanga government akyuse enkola zaayo ez’emirimu, zebagamba nti zaali zikotoggera abavubuka okufuna emirimu.
Oluvannyuma president Museven yamulonda okufuuka omubaka we mu Lubaga municipality, wabula oluvannyuma n’asuulibwa.
Bisakiddwa: Betty Zziwa