Nabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavudde asaanyiizaawo ebintu by’abasuubuzi mu Nsimbudde Muwanga zone, Katwe I parish mu Kampala.
Ebintu ebiyidde bibadde kumpi ne Kompu garage okuliraana Equity bank.
Kiteeberezebwa nti omuliro guvudde mu kamu ku buyumba obufuumbirwamu emmere, negusaasaanira obulala obutunda ebyuma by’emmotoka ne business endala.
Police y’abazinnya mwoto esaanze akaseera akazibu okuzikiza omuliro guno guleme kusaasaanira ennyumba eziriraanyeewo, olw’amakubo amafunda.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif