Abatuuze ku byalo okuli Lugonjo, Nalukolongo Buyiri n’e Kiwayi mu gombolola by’eNgogwe mu disitulikiti ey’eBuikwe bavudde mu mbeera nebatemaatema abagambibwa okuba ababbi, babasanze n’embizzi ya mutuuze munaabwe.
Abatuuze bagamba nti ababbi babalemesezza okubaako okubaako kyebakola, olw’okubabbira emmere n’ebisolo byabwe.
Kigambibwa mu kiro ekikeesezza olwa nga 29 June,2024, babadde balawuna kwekugwa ku musajja ategerekese nga ye Kkaaanya omutuuze w’eLugonjo ng’asibye ku pikipiki embizzi gy’abadde amaze okusalako omutwe, bamubuuzizza gyagijje ng’amatama ntengo.
Okusinziira ku Ssentebe w’eKyalo Buyiri Ssenkubuge James, Kaanya ne munne atamanyiddwa mannya kyoka ng’abadde yakaletebwa mu kitundu ekyo okukola ,embizzi bajjibbye ku kyalo ky’eLugonjo wabula bakwatiddwa Kikwayi nga banatera okuyingira Nkokonjeru.
Kaanya olumukute bamukunguzizza okumuzza mu kabuga ke Kateete nga wano webatandikidde okumukuba n’okumutema nabaako abalala baalonkoma wabula oluvanyuma naafa.
Munne gw’abadde naye naye bamutemyeteemye, nebamulekaawo ng’alaajana okumala akaseera, okutuusa police lwezze nemuggyawo, wamu n’omulambo gwa munne saako embizzi gyebabadde babbye.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis