Enteekateeka y’okukola oluguudo lwa Kajjansi – Bweya – Ddewe okutuuka e Lutembe mu nteekateeka ya greater Kampala Metropolitan Development Area Urban Development plan eyongeddwamu amaanyi.
Abakulembeze okuva ku district ye Wakiso ne Kajjansi town council batandise okuperereza abatuuze abali mu bitundu ewayita oluguudo, okukkiriza bawe olukusa omulimu guno gusobole okugenda mu maaso awatali kuliyirirwa.
Okusinziira ku bukwakkulirizo bwa Bank Yensi yonna egenda okuvujjirira omulimu guno, abali abali ku nguudo ezikolebwa balina kuwagira nkulaakulana n’ekolebwa mu bitundu byabwe, awatali kuliyirirwa.
Engineer wa district ye Wakiso Eng Geofrey Ndiwalana asinziridde mu lukiiko olutudde e Bulonde – Kanyigo, agambye nti abatuuze abagenda okukosebwa mu pulogulamu eno, basobola okuwandiikira town council singa babeera bagenda okuzimba, zeyisa plan z’ebizimbe byabwe awatali kusasula wamu n’okubasonyiwa emisolo egimu okumala ebbanga eggere.
Mayor wa Kajjansi Town Council Hajji Al-Bashir Kayondo akangudde ku ddoboozi eri abamu ku batuuze ababadde bagezaako okulemesa enteekateeka z’okukola oluguudo luno, ng’ate basiiba bamukaabirira enfuufu n’ebinnya .
Enkiiko ez’okwogerezeganya n’abatuuze mu kitundu zikyagenda mu maaso abatuuze baeeyo ebitundu ku ttaka lyabwe enguudo zikolebee.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo