Ekitongole ky’ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics – UBOS kifulumizza ebyava mu kubala bannauganda nga bali obukadde 45,935,046.
Emiwendo gino givudde mu kubala abantu mu Uganda okwakebwa okuva nga 9 okutuuka nga 26 May,2024.
Omuwendo gwa Bannauganda ggulinnye okuva ku bukadde 34 n’emitwalo 60 Uganda beyalina mu 2014 okutuuka ku bukadde 45 n’e mitwalo 90.
Abantu obukadde 11 n’emitwalo 30 bebeyongeddeko mu myaka 10 , by’ebitundu 3%
UBOS etegeezezza nti ku bukadde bw’abantu 45 n’emitwaalo 90, kuliko abanoonyi boobubudamu emitwalo 78 abawangaalira mu nkambi ezenjawulo.
Ebibalo biraze ntimwendo gw’abakazi munene okukira ku Basajja.
Abakazi bali obukadde 23 by’ebitundu 51% ate abasajja bali obukadde 22 nga bakola ebitundu 49%.
Abaana wakati wolunaku lumu n’emyaka 17 mu Uganda bali ebitundu 51%.
Abavubuka ebe myaka 18-20 bali ebitundu 23% nga kitegezeeza abaana n’abavubaka bakola ebitundu 74%.
Abakadde abasukka emyaka 60 bali ebitundu 5.% , Omuwendo gwa bannauganda abaliko kyebakola nga bali wakati w’emyaka 14-64 bali ebitundu 55.6%.
UBOS mukubala kweyakoze yakizudde nt Uganda erina Amaka obukadde 10 mu emitwalo 84.
Mu 2012 yalina amaka obukadde 7 nemitwalo 24.
Mu 2002 yalina amaka obukadde 5.
UBOS mungeeri yeeemu etegezeezza nti yatuuka mu maka obukadde 11, wabula agamu yasanga bannyini go bali ku mirimu , nga naabalala baayabulira dda Uganda baagenda mitala wa Mayanja.
Ebyavudde mu klubala biraga nti Kampala yesinga ebibuga byonna okwettanirwa abantu buli lunaku, abantu emitwalo 62 wakiri balinnyako ekigere mu Kampala.
Ababeereramu ddala era nga mwebasula bali akakadde 1 n’emitwalo 87.
Ekibuga Mbarara kikungaannya abantu emitwalo 63,318 , nga kirina abatuuze emitwalo 26.
Masaka ekungaanya abantu emitwalo 4,2976 ate abatuuze mu Kibuga kino bali emitwalo 285,509.
Ekibiga Jinja abantu abayingirayo bali emitwalo 7, ate nga muwangaliramu abantu emitwalo 29.
EKibuga Mbaale kirina Omuwendo gw’abantu emitwalo 8 ababeeramu emisana , so nga abantu emitwalo 28 batuuze.
Fortportal erina abantu emitwalo 13 , so nga abantu emitwalo 4 bebayita mu kibuga ekyo.
Arua ewangiramu abantu emitwalo 38 ,ate abantu emitwalo 5 bayitako mu kibuga kino buli lunaku.
Alipoota alaze nti abantu abasinga obungi bali mu bitundu bya Buganda, bali obukadde 13.
Busoga erina abantu obukadde 4 n’emitwalo 37.
Westile Nile yakusatu n’obukadde 3nemitwalo 90.
Ankole obukadde 3 n’emitwalo 60.
Tooro obukadde 3 n’emitwalo 3.
Bunyolo erina a abantu obukadde 2 n’emitwalo 80.
Lango obukadde 2 n’emitwalo 57.
Teso abantu obukadde 2 n’ekitundu.
Bukedi obukadde 2 n’emitwalo 38.
Elgon erina abantu obukadde 2 n’emitwalo 21.
Acholi obukadde 2.5, Kigezi akakadde 1,80.M karamojja nesembayo n’bantu akakadde 1 n’emitwalo 45.
Omukulembeeze we ggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuharwa asinzidde ku Serena Hotel mu Kampala mu kwanjula ebyava mu kubala naagamba nti okumanya ebibalo ebituufu ebiri mu Uganda, byakubayamba okuyamba omuwendo gw’abantu bebalina okuteekerateekera, era n’acoomera abalyake n’abakenuzi nti bebasibidde eggwanga emabega.
Ssenkulu wa UBOS Dr. Chris Ndatira Mukiza ategezeezza nti omulimu gw’okubala abantu tegwaali mwangu nakamu ,kubanga ebyuma byasooka kufa , obutemu obwakolebwa ku bakozi b’ekitongole , abantu okubayigganya nga waliwo naabatuuka okuteera embwa abali babala , nga waliwo nebitundu bingi ebyebakaluubiriza olw’obusambatuuko obuliyo.
Okubala kuno kwamulundi gwa 10, naye nga ebyavudde mu kubala kuno ebyenkomeredde byakufulumizibwa mu December w’omwaka guno 2024, era guno gwemuteeko ogusoose ku miteeko esatu Alipoota mwesubirwa okufulumizibwa .
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius ne Kato Denis