Akakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government aka COSASE,kalagidde ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ki NEMA Dr Barirega Akankwasa akatwalire ebikwata kubwannanyini bwa kampuni y’amafuta eya Stabex, eyazimba essuundiro ly’amafuta mu lutobazi lwe Lubigi.
Akakiiko kano okuyisa ekiragiro kino kiddiridde okwemulugunya okuzze kukolebwa nti eessundiro lino NEMA bweyali emenya ennyumba z’abantu ba bulijjo yalitaliza, sso nga liri mu kifo kye kimu.
Ku ssundiro lino kwekuli ekitebe kya kampuni eno ekikulu.
Ssentebbe w’akakiiko ka parliament aka COSASE Owek Medard Lubega Ssegona mu nsisinkano n’abakulira NEMA alagidde ssenkulu waayo Dr Barirega Akankwasa ,akwaate ebikwata ku bwannanyini bwa kampuni eyo eya Stabex abitwaale eri akakiiiko ako.
Wabula Dr Barirega Akankwasa agezezaako okutegeeza akakiiko nti bannanyini kampuni Eno Nema tebamanyi, nti kubanga bweyali egaba licence y’okuzimba mu Lubigi, yagiwa kampuni sso ssi bannanyini yo.
Akakiiko kagaanye okunyonyola kwe, kwekumulagira ewatali kugaana akwate ebikwata ku bannnayini yo, ebiwe akakiiko ewatali kugaana, kekeneenye bannanyini yo bekittira ku liiso.
Wabaddewo.amaloboozi agemulugunya ku kitongole mya NEMA nti kyasalawo kumenya ennyumba z’abawejjere abeesenza mu ntobazi, nekirekawo ez’abagagga nti sso nga okwonoona entobazi tekutaliza mwavu na mugagga.#