Okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North kutandise kikeerezi mu bitundu ebimu, olw'obuuma obukozesebwa mu kulonda okutuuka ekikeerezi okuva mu kakiiko k'ebyookulonda. Wabula Commissioner wa Electoral Commission of Uganda Ssalie Simba...
Akakiiko ka parliament akasunsula n'okwekeneenya president baabeera awadde obukulu kasunsudde Omulamuzi Dr.Dagalous Singiza ku kifo kya ssentebe w'akakiko k'eggwanga akalondoola essiga eddamuzi ka Judicial service commission Akakiiko Kano akalondoola essiga...
Omugenzi Godfrey Kamoga abadde atemera mu gyobukulu 29 nga abadde mutuuze ku kyalo Namawojja ekisangibwa mu Zirobwe town Council. Kigambibwa nti Omugenzi Kamoga yali yasenza mukwano gwe awaka wabula abatuuze...
Abantu 5 bafiiridde mu kabenje akaguddewo mu kiro kya Wednesday, nga 05 March,2025 e Kagoma ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo road sso nga 21 bebabuseewo n'ebisago. Akabenje...
Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte ekizimbe kya Sunrise Hotel ku Khamis road okumpi ne paaka ya taxi ne Bus eya Namayuba mu Kampala. Ebintu by'abasuze n'abasuubuzi bingi bifuuse Muyoonga, so nga...
Police mu district ye Nakaseke etandise okunonyereza ku mujaasi w'eggye ly'eggwanga erya UPDF akubye mukyala we assasi nAamutiirawo olw'okusaanganga tafumbye mmere. Omujaasi Sserunkuuma Denis y'akubye amasasi mukyalawe Kebirungi Kella Adyeri...
Ekkanisa ya Uganda etongozza ekizimbe ky'ekisulo ky'abagenyi ekibbuddwa eyali Ssaabalabirizi omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo. Ekizimbe kino kyekimu ku birabo ebiwereddwa ekkanisa wakati nga Ssabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda ow'omulundi ogwo...