Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte ekizimbe kya Sunrise Hotel ku Khamis road okumpi ne paaka ya taxi ne Bus eya Namayuba mu Kampala.
Ebintu by’abasuze n’abasuubuzi bingi bifuuse Muyoonga, so nga waliwo n’omuntu omu afiiridde.
Afudde musajja atemera mu gy’obukulu 45 wabula amannya n’ebimukwatako ebirala tebinamanyika.
Ekizimbe ekikutte omuliro kya myaliriro 5, era Omuliro gutandikidde ku mwaliro ogusooka, nga kwekuli effumbiro.
Abantu ababadde bawummuddeko mu bisenge ebiri ku myaliro egyawaggulu babunye omuwabo, omukka bwegutandise okutuuka mu bisenge mwebabadde
Abasiinga bayitidde mu madirisa, era abasuubuzi ababadde wansi bebabayambye okubaalirirawo emifaaliso nebagwako obutakosebwa nnyo, wabula omu afudde kigambibwa nti ye yekkase wansi okuva ku mwaliro ogw’okusatu era talutonze.
Police y’abazinnyamwoto wetuukidde nga waliwo abantu abakyalemereddwa okuvaayo waggulu, ate ng’omuliro gubadde gwongedde okusaasaanira ekizimbe kyonna.
Police etegeezezza nti waliwo abantu abawerako abanunuddwa okuva mu kizimbe ekikutte Omuliro, nga babadde batandise okuziyira.
Abantu munaana bebagambibwa okutwalibwa mu malwaliro agenjawulo okufuna obujjanjabi, ssonga ebintu bya bukadde nabukadde bitokomokedde mu muliro guno.
Omwoogezi wa police mu Kampala n’emieiraano Patrick Onyango, ategeezezza nti okunoonyereza ku kituufu ekiviiriddeko Omuliro guno kutandise.
Bisakiddwa: Kato Denis