Ekkanisa ya Uganda etongozza ekizimbe ky’ekisulo ky’abagenyi ekibbuddwa eyali Ssaabalabirizi omugenzi Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo.
Ekizimbe kino kyekimu ku birabo ebiwereddwa ekkanisa wakati nga Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda ow’omulundi ogwo 9, Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, ng’ajaguza okuweza emyaka 5 nga ye Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda.
Ssabalabirizi Kazimba agambye nti mu myaka 5 gy’amaze mu buweereza mubaddemu ebisoomoza bingi, kyokka nti era abaddemu n’obuwanguzi omuli okuzimba ekizimbe kya Archbishop Guest House ekitongozeddwa , n’okusasula ebbanja lya Church House eryali kisoba mu buwumbi 6, nebirala.
Ssabalabirizi alabudde ku busosoze nokutulugunyizibwa kweddembe lyobuntu okuliwo mu ggwanga ensangi zino nti bisanye okukomezebwa kuba buli muntu wamugaso mu ggwanga.
Eyaliko Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda, Emeritus Stanley Ntagali, nga kati amakanda yagateeka mu bitundu bye Kikuube, agambye nti musanyufu olw’engeri Ssaabalabirizi Kazimba gweyakwasa entebe gyatambuzaamu emirimu gy’ekkanisa.
Ssabalabirizi Kazimba yatuuzibwa nga 01 March, 2020, era obuweerezabwe bwatandikira mu muggalo gwa COVID 19.
Enteekateeka y’okuzimba ekizimbe kino, yatandikibwako nga 01 March, 2022.
Kyawomwamu omutwe minister w’ebyamasanyalaze, n’ebyobugagga ebyomuttaka, Dr. Canon Ruth Nankabirwa Ssentamu.
Ekizimbe kino ekituumiddwa Archbishop Nkoyoooyo Guest House, kya myaliriro 3, nga kyakusiinga kusuza bagenyi ba Ssaabalabirizi n’abalala ab’ekanisa.
Bw’abadde atongoza ekizimbe kino, Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, agambye nti ekizimbe baasazeewo okukibbula mu Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda owookutaano, Dr. Nkoyooyo kuba yeyabayola okutuuka ku kkula lyebaliko.
Omulabilizi wa Central Buganda, Michael Lubowa, yakulembeddemu okusabira ekizimbe ekitongozeddwa.
Ssentebe w’akakiiko akazimbye ekizimbe, era minister w’ebyamasanyalaze n’ebyobugagga ebyomuttaka, Dr. Canon Ruth Nankabirwa Ssentamu, agambye nti ekizimbe kikyalinako ebibulamu kyokka bakola ekisoboka okubumaliriza bwonna.
Bisakiddwa: Ddungu Davis