Amasasi n’Omukka ogubalagala biumyoose e Kawempe ng’ebitongole by’ebyokwerinda omuli Amagye, police ne JAT (Joint Anti Terrorism) nga bagugumbula banna kibiina Kya NUP ababadde bagenze okusabira omuntu wabwe Erias Nalukoola akalulu.
Abantu abawerako banna kibiina kya NUP bayooleddwa ab’ebyokwerinda,abalala bakubiddwa emiggo, ng’ababakuba babadde bambadde obukookolo.
Abamu ku bawagizi be’ekibiina kino bakubiddwa emiggo nebaddusibwa mu malwaliro nga bayiika musaayi.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine abadde agenze okunoonyeza omuntu we akalulu, atabukidde ab’ebyokwerinda okubeera ne kyekubiira mu byobufuzi nebatuuka n’okumenya abantu be amagulu.
Agambye nti embeera bweti yewunyisa, neyewuunya akalulu ka 2026 bwekanaabeera.
Wabula agambye nti tebagenda kuva ku mulamwa gwakulwanirira nkyukakyuuka mu ggwanga lino, nti kubanga ababakuba emiggo bagenderera kubanafuya.
Abamu ku bantu abakubiddwa emiggo n’ensamba ggere balaze okunyolwa olw’abasirikale abeesibye obukookolo ababakuba emigoba nte, kyokka nga tebamanyi wakwekubira nduulu.
Wabula Omwogezi wa police ya Uganda Baguma Kituuma abade mu lukuηaana lwa bannamawulre e Naguru, naawa abantu abagezi abalina okweulugunya ku basirikale abo, okugenda mu mbuga z’amateeka bekubire eyo enduulu.