Omugenzi Godfrey Kamoga abadde atemera mu gyobukulu 29 nga abadde mutuuze ku kyalo Namawojja ekisangibwa mu Zirobwe town Council.
Kigambibwa nti Omugenzi Kamoga yali yasenza mukwano gwe awaka wabula abatuuze bazeenga bamugamba nti mukaziwe Shakira Mbabazi, nti abadde alina enkolagana etali nnungamu nemukwano gwe ono naye nga omugenzi awakana.
Kigambibwa nti ku makya ga leero nga 06 March,2025, Kamoga yabaguddeko mu ddiiro nga bali mu bikolwa eby’omukwano, nebamwekanga omukazi kwekumufumita akambe mu kifuba.
Mayor wa Zirobwe Town Council, Immarachi Pasikari alaze obwenyamivu olw’ettemu erye yongedde mu kitundu kye era ono akubiriza abafumbo abalina obutakanya okwewala okutwalira amateeka mu ngalo.
Omwogezi wa Police mu ttundutundu lya Luweero Sam Twinnamazima agambye nti bakakwatako Mbabazi Shakirah nga bwebayigga Omusiguze.
Bisakiddwa: Ttaaka Conslata