Police mu district ye Nakaseke etandise okunonyereza ku mujaasi w’eggye ly’eggwanga erya UPDF akubye mukyala we assasi nAamutiirawo olw’okusaanganga tafumbye mmere.
Omujaasi Sserunkuuma Denis y’akubye amasasi mukyalawe Kebirungi Kella Adyeri n’amuttirawo.
Sserunkuma Denis kigambibwa nti akolera mu ttendekero ly’amagye erya Kaweweeta Training School.
Police etegezezza nti abafumbo bano babadde babeera mu nkambi y’amagye e Kaweweeta, kyokka bafunye obutakkaanya era obwedda bali munyumba yabwe bawanyisiganya ebigambo,nga omusajja alumiriza mukyala we okugaana okufumba emmere.
Kigambibwa nti omugenzi yasazeewo okufuluma mu nnyumba kyoka Sserunkuma yazze amulondoola n’emundu ekika kya SMG namukuba essasi ku mutwe naamuttirawo.
Kigambibwa nti olumaze okutirimbula mukyala we naye neyekuba essasi wabula naatafa.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo ASP Twinaamazima Sam agambye nti eyekubye amasasi atwaliddwa mu ddwaliro ly’amagye e Kaweweeta Military health IV okufuna obujjanjambi, ate omulambo gutwaliddwa ku Bombo Military Hospital okwekebejjebwa.#