Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Martin Okoth Ochola ataddewo akakiiko ka bambega akenjawulo, kanoonyereze ku ngeri tikiti ezikubibwa bannyini bidduka eziwera 22,561 gyezaabulankanyizibwamu abaserikale mu police y’ebidduka, nebatuuka okufiiriza government...
Abasaabaze abadda e Masaka n'okweyongerayo bajjumbidde entambula y'okumazzi bayita Nakiwogo - Ntebe okutuuka ku mwalo e Bukakkata. Omu kubakola ku meeri e Nakiwogo Ivan Lubuye agamba nti abantu bazze mu...
Police n’ebitongole ebirala ebikuuma ddembe kyaddaaki bikutte nebiggalira omusirikale wa police, Wabwiire Ivan, eyakubye omuyindi, Uttam Bhandari, amasasi agaamuttiddewo l. Uttam Bhandari yeyabadde director wa kampuni ya TFS financial services...
Abekitongole ky'ebyenguudo mu ggwanga ekya UNRA batandise okutuusa ebintu ebigenda okukozesebwa, okuzzaawo olutindo olwaguddemu ku mugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka. Wabula go amazzi ga Katonga...
Abadde minister omubeezi ow'abakozi n'emirimu Rtd.Col.Charles Engola Okello MacOdongo aziikiddwa ku kyalo Awangi ekiri mu gombolola ye Iceme mu district ye Oyam. Engola yafa wiiki ewedde omukuumi we Wilson Sabiiti...
Police ya CPS mu Kampala etegezezza nti omusirikale waayo Ivan Wabwire eyakubye omuyindi abadde akulira Kampuni ya TFC Financial Services eyamuwoola ssente amasasi, nti abadde n'ekikyamu ku mutwe era nti...
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ekya Buganda Land Board kisse omukago n'ekitongole ekirwanirira obwenkenya eri bakyala ekya FIDA, okukolera awamu ku nteekateeka y'okusomesa abantu ba Kabaka naddala abakyala ku bikwata ku...
Munnansi wa Buyindi akubiddwa amasasi agamutiddewo ku kizimbe kya Raja Chambers ku luguudo lwa parliamentary avenue mu kibuga Kampala. Attiddwa atanategerekeka mannya y'abadde manager wa TFC financial services kampuni empozi...
Kkooti ya City Hall mu Kampala esindise musajjamukulu ku kkomera e Luzira, avunaanibwa kumenya bbaala n'abbamu eccupa z'omwenge 11 n'azeekatankira, neyezibika n'emitwalo gya shs 300,000/= gyeyasangamu. Bikere Edgar Nzangwa nga...