Kkooti ya City Hall mu Kampala esindise musajjamukulu ku kkomera e Luzira, avunaanibwa kumenya bbaala n’abbamu eccupa z’omwenge 11 n’azeekatankira, neyezibika n’emitwalo gya shs 300,000/= gyeyasangamu.
Bikere Edgar Nzangwa nga mubazzi, kigambibwa nga 29th omwezi gwa April 2023, yamenya ebbaala ya Teddy Namugambe esangibwa mu zone ya Mulimira e Bukoto mu Kampala n’abbamu omwenge ne sente enkalu,
Bikere omusango agwegaanye, omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya City Hall Jane Tibagonzeka n’amusindika ku alimanda e Luzira okutuusa nga 24th May,2023 ng’okunoonyereza ku musango gwe bwekugenda mu maaso.