Police ya CPS mu Kampala etegezezza nti omusirikale waayo Ivan Wabwire eyakubye omuyindi abadde akulira Kampuni ya TFC Financial Services eyamuwoola ssente amasasi, nti abadde n’ekikyamu ku mutwe era nti abadde yawerebwa okuddamu okukwata emmundu ebbanga lya myaka 6 egiyise.
Omusirikale wa Police Ivan Bwiire yakubye Uttam Bhandari amasasi agamutiddewo, bweyabadde agenze mu kampuni eyo ku kizimbe kya Raja Chambers ekisangibwa mu Parliamentary Avenue okumunyonyola ebikwaata ku ssente zeyewoola.
Wabwire yavudde mu mbeera n’akuba Uttam Bhandari amasasi agaamuttiddewo, oluvanyuma lw’okumunyonyola ebintu ye byeyawakanyizza.
Patrick Onyango omwogezi wa Police mu Kampala n’emirirano ategezezza nti abasirikale ba police abakola okunoonyereza ku ttemu bagenze mu kifo ewabadde ettemu nebagyayo ebisosonkole by’amasasi 13.
Onyango agambye nti okumala emyaka 6 omusirikale Ivan Wabwiire abadde takwata mmundu,era ng”emirimu gyebaamuwa tegimwetagiisa kukwata mundu.
Annyonyodde nti omusirikale oyo abadde atuula n’abalondoola kamera enkessi, wabula olunaku olw’eggulo yabbye emundu ya musirikale munne ayitibwa Mulambo Steven gw’abadde assula naye, era gyeyakozesezza okutta omuntu.
Omusirikale Mulambo Steven akwatiddwa olw’okulagajjalira emundu ye, wabula ye Ivan Wabwire eyasse omuntu tanamanyikako mayitire.
Wabwire olwamaze okutta omuntu n’akwata emmundu n’ajisuula ku CPS n’amalamu omusubi.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico