Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Martin Okoth Ochola ataddewo akakiiko ka bambega akenjawulo, kanoonyereze ku ngeri tikiti ezikubibwa bannyini bidduka eziwera 22,561 gyezaabulankanyizibwamu abaserikale mu police y’ebidduka, nebatuuka okufiiriza government omudidi gw’ensimbi.
Ebiwandiiko by’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki URA byalaze nti obuwumbi bwa shilling za Uganda 3.5 tebulabikako yadde nga zayingizibwa mu bitabo bya police, nga kiteeberezebwa nti waliwo abaserikale mu police y’ebidduka abazze bazibulankanya.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti abaserikale 4 bagiddwa mu kitongole kya police y’ebidduka nebazzibwa mu bifo ebirala, nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.#