Police n’ebitongole ebirala ebikuuma ddembe kyaddaaki bikutte nebiggalira omusirikale wa police, Wabwiire Ivan, eyakubye omuyindi, Uttam Bhandari, amasasi agaamuttiddewo l.
Uttam Bhandari yeyabadde director wa kampuni ya TFS financial services empozi y’ensimbi, ku Raja chambers building ku luguudo Parliamentary Avenue mu Kampala.
Abakuuma ddembe mu kitongole kya Flying Sqaud nebitongole ebyenjawulo, bamukwatidde mu district ye Busia.
Wabwire Ivan okukwatibwa mu municipaali ye Busia abadde agezaako okusala ensalo addukire mu ggwanga lya Kenya, era omuduumizi wa police ye Busia, Didas Byaruhanga yakulembeddemu ebikwekweto by’okumukwata.
Amyuka ayogerera police mu Kampala neemiriraano, Luke Oweyesigire, atenderezza eddimu erikoleddwa ba mbega ba police okukwata omusirikale ono, nga kino bakikoledde mu saawa 42 zokka okukwata omutemu.
Police eriko obutambi bwa camera bweyafulumya, obulaga Wabwire ng’asindirira Bhandari amasasi n’oluvannyuma n’atwala emmundu n’agisuula ku kitebe kya police ekya CPS neyeyongerayo.
Bino byonna byaliwo ku lunaku lwa Friday olwayise
Bisakiddwa: Ddungu Davis