Abadde minister omubeezi ow’abakozi n’emirimu Rtd.Col.Charles Engola Okello MacOdongo aziikiddwa ku kyalo Awangi ekiri mu gombolola ye Iceme mu district ye Oyam.
Engola yafa wiiki ewedde omukuumi we Wilson Sabiiti bweyamukuba amasasi agaamuttirawo mu maka ge, n’oluvannyuma omukuuni naye neyetta.
Wasooseewo okusaba okukulembeddwamu omulabirizi eyawummula ow’obukiika kkono bwa Uganda Kitaffe mu katonda Rev Nelson Onono-Onweng.
Abakulembeze mu bendobendo lye Lango naddala bannaddiini basiinzidde mu kuziika kuno, nebaba government ekole ku nsonga z’emisaala gy’abakozi , okukendeeza ku buzzi bwemisango obuzze bulabikira mu bakuuma ddembe, enguzi n’ebikolwa ebirala ebyekko.
Omulabirizi asinzidde mu kuziika kuno naasaba ab’Oluganda lw’Omugenzi Charles Engola okusonyiwa ab’Oluganda lw’Omuserikale Private Wilson Sabiiti eyakuba minister amasasi agaamutta naye neyetta, balindirire okulamula okuva ewa Katonda.
Omumyuuka w’Omukulembeze w’eggwanga Rtd Col Jesicca Alupo nga yakiikiridde president Museveni mu kuziika kuno, avumiridde abakuuma ddembe abakozesa obubi ebyokulwanyisa nebamenya amateeka, nti bano baakuvunaanibwa mu mu mbuga.#