Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ekya Buganda Land Board kisse omukago n’ekitongole ekirwanirira obwenkenya eri bakyala ekya FIDA, okukolera awamu ku nteekateeka y’okusomesa abantu ba Kabaka naddala abakyala ku bikwata ku ttaka n’engeri gyebasobola okufunamu ebyapa.
Omukungu Simon Kabogoza Muwanga Ssenkulu wa Buganda Land Board ategeezeza nti omukago guno gujidde mu kiseera ng’abantu bangi bakyalina obutamanya ku bikwata ku bwanannyini ku ttaka.
Omukungu Kizito Bashiri amyuka Ssenkulu wa Buganda Land Board agambye nti bagenda kusookera mu masaza; Bulemeezi ne Buluuli mu nteekateeka eno ey’okusomesa abantu ku bikwata ku ttaka.
Lilian Byarugaba Adriko akulira FIDA agambye nti abakyala bangi babadde banyigirizibwa ku nsonga zéttaka.