Abekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga ekya UNRA batandise okutuusa ebintu ebigenda okukozesebwa, okuzzaawo olutindo olwaguddemu ku mugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Wabula go amazzi ga Katonga gakyakulugguka.
Okusinziira ku kitongole kya UNRA omulimu gw’okuddamu okukola olutindo olwaguddemu guyinza okutwala wakati wa wiiki 2 – 3 singa amazzi gabeera tegazeemu kweyongera bungi.#