President Museven azeemu okuyisa ebiragiro ebiggya ku bantu ababeera n’okukolera emirimu egyenjawulo okuliraana emigga n’ennyanja.
President alagidde ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya NEMA, okufuuza abantu bonna abakolera ku mbalama z’emigga n’ennyanja.
Balina okukoma mu buwanvu bwa mitta 50 okuva ku njegoyego z’emigga n’obuwanvu bwa mitta 200 okuva ku mbalama z’ennyanja okutaasa obutonde.
President era alagidde NEMA okukwata abantu bonna abatema emiti baagambye nti bebaviriddeko okubumbulukuka kw’ettaka okweyongera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, n’amazzi okwanjaalirira mu bantu n’abamu nebafiirwa obulamu.
Ebiragiro bya president bivudde ku mugga Katonga ogwabooze negusalamu oluguudo lwa Kampala Masaka ekisannyalazza entambula.
Omugga Kagera nagwo gubooze era guliko ebyamaguzi byegwonionye mu district ye Isingiro.
Bino era bijjidde mu kiseera nga ne ministry y’ebyamazzi n’obutonde eriko akakiiko keesazeewo okusindika ku mugga Katonga, okwongera okwetegereza embeera okuzuula ekituufu ekyavuddeko amazzi okubotola ekkubo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis