Government okuyita mu ministry y'ebyenjigiriza efulumizza ensimbi obuwumbi 109 n'obukadde 710, eziweerezeddwa amasomero ga government naddala agalina enkola ya bonna basomese mu secondary ne primary okwetolola eggwanga. Ensimbi zino ziweereddwa...
Omuyimbi Evelyn Nakabira amanyiddwa ennyo nga Evelyn Lagu ne Evelyn Love avudde mu bulamu bwensi eno ku myaka 41 egy'obukulu. Evelyn Lagu abadde amaze ekiseera ng'atawanyiizibwa obulwadde bw'ensigo. Afiiridde mu...
Abantu abakozesa oluguudo oluva e Mateete okudda mu Kibinge - Bukomansimbi okutuuka mu kibuga Masaka beeralikirivu nnyo olw'olunyaafa olukubye wakati mu luguudo mu mugga Kyooja ogwawula District ye Sembabule...
Eggye ly'eggwanga erya UPDF litegeezezza nti lyokka lyeririna obuvunaanyizibwa obukuuma enzizi z'amafuta ga Uganda zonna, era nti kyekyaweebwa olukusa okukuuma eby'obugagga by'eggwanga mu bitundu byonna. Bino byogeddwa Omuduumizi wa UPDF...
Kkooti enkulu e Mukono esindise ku alimanda mu kkomera e Luzira Dr. Mathew Kirabo eyali yadduka mu Uganda, oluvannyuma lw'okusingisibwa omusango gw'okutta mugenzi we. Mu May 2022, omulamuzi wa kkooti...
Wabaddewo katemba mu kkooti y'omulamuzi weddaala erisooka atuula e Buwama mu district ye Mpigi Tuhinbise Valeria, kkooti bweyejjjeerezza omwana ne taata we emisango gy'okulwanira mu lujjudde, ne buli omu okwoonoona...
Akawumbi ka shilling za Uganda 1.2 kekaasoloozeddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo ki UNRA mu nkola ey'engassi, eyakubwa abagoba ba mmotoka abatikka obuzito obutakkirizibwa mu mateeka. Ensimbi zino zaagibwa ku mmotoka...
Abalunnyanja abasoba mu 600 ku Mwalo gwe Mugungu mu Ntenjeru-Kisoga Town Council mu district eye Mukono boolekedde okulwala endwadde eziva ku bukyafu nga Cholera, Typhoid, n’endala olw’obutaba na Kabuyonjo. Abalunnyanja...
Police mu Kampala n'emirirano eri ku muyiggo gwa ddereva w'emmottoka ey'ekika kya Fuso NO. UAD 081T erabikidde mu katambi akasasanye ku mikutu gyokumutimbagano ng'esabaala abantu Okusinzira ku police akabenje kano...
Abatuuze be Kkungu Buwaate ne Najjeera ekisangibwa mu Kira division baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw'omuwala ow’olubuto okugenda mu kaabuyonjo okwetaawuluza, omwana naagwa mu kaabuyonjo. Omukyala ono mutuuze we Kkungu era ngabadde...