Akawumbi ka shilling za Uganda 1.2 kekaasoloozeddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo ki UNRA mu nkola ey’engassi, eyakubwa abagoba ba mmotoka abatikka obuzito obutakkirizibwa mu mateeka.
Ensimbi zino zaagibwa ku mmotoka 14000 mu mwaka gwebyensimbi 2022/2023, oluvannyuma lw’ekitongole ki UNRA okwekengera mmotoka zino nekiziteeka ku minzaani zokunguudo.
Ssenkulu w’Ekitongole ki UNRA Allan Kagina, agambye nti tebaagala kuweesa bagoba ba mmotoka ngassi olw’okutikka akabindo, wabula baagala batandike okuzitikka obuzito obusaanidde ziremekwonoona nguudo.
Kagina agambye nti ensimbi akawumbi 1.2 akaasoloozeddwa tekasobola kuddaabiriza bitundu byonooneddwa mmotoka zino, naalabula abagoba ba mmotoka ezitikka obuzito obutakkirizibwa okweddako.
Bisakiddwa: Kato Denis