Abantu abakozesa oluguudo oluva e Mateete okudda mu Kibinge – Bukomansimbi okutuuka mu kibuga Masaka beeralikirivu nnyo olw’olunyaafa olukubye wakati mu luguudo mu mugga Kyooja ogwawula District ye Sembabule ku ye Bukumansimbi.
Omugga guno Kyoojja enkuba eyatonnya ennyo sizoni eyayita yaleka gutandise okubomola oluguudo, kati enkuba ezeemu okutonnya eviiriddeko olunyaafa olunene okwesala mu luguudo wakati.
Abakozesa oluguudo luno nga bakulembeddwamu Joseph Ntege, Stage Master Mateete Ssembabule agambye nti kazibeere pikipiki tezisobola kuyisiza mabbali ga kkubo mu kitundu ekyo, ekyongedde okuteeka obulamu bw’abantu abaluyitako mu katyabaga.
Joseph Ntege asabye abakulembeze naddala ababaka ba Parliament okubayamba okutuukirira ab’ekitongole kya UNRA okubaako kyebakolawo ng’abantu tebanafiira mu mugga guno.
Wabula UNRA kkampuni gyeyawa omulimo ogw’okuddaabiriza oluguudo luno gyebuvuddeko omugga guno baagubuuka, nebakolako ekitundu ekidda e Mateete n’okweyongerayo e Kaliiro-Lyantonde, songa era n’ekitundu okuva e Kisaaka okutuuka e Kyabakuza nakyo tekyakolebwa.
Amyuka Omubaka wa government e Bukomansimbi Ssalongo Fred Kalema Pax ategezezza nti naye yafunye dda okwemulugunya okuva munbagoba ba takisi ku mbeera eriwo ku luguudo luno mu kitundu kya Kyooja, era nti bakola ekisoboka okwogerako n’ebekikwatako.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito