Police mu Kampala n’emirirano eri ku muyiggo gwa ddereva w’emmottoka ey’ekika kya Fuso NO. UAD 081T erabikidde mu katambi akasasanye ku mikutu gyokumutimbagano ng’esabaala abantu
Okusinzira ku police akabenje kano kabadde ku Kyagwe Road okumpi n’akatale ka emmotoka ya FUSo bweremedde omugoba waayo atanaba kutegerekeka mannya n’esabaala abantu.
Patrick Onyango omwogezi wa Police mu Kampala n’emirirano ategezeza nti emmotoka eno eya FUSO esoose kulinya pikipiki nnamba UFX 069Y ebaddeko omusabaaze omukyala gw’ekuludde oluvanyuma n’egwa mu pikipiiki endala nnamba URG 495N BAJAJ BOXER
Patrick Onyango ategezeza nti ababadde ku pikipiiki NO.UFX 069Y Kkubaddeko omugoba waayo ategerekese nti ye Ssebadda Charity omutuuze we Kyabando Nansana
Onyango agambye nti ddereva w’emottoka fuso Nnamba UAD 081T addusse oluvanyuma lw’okukola akabenje era bamuyiga
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico