Kkooti enkulu e Mukono esindise ku alimanda mu kkomera e Luzira Dr. Mathew Kirabo eyali yadduka mu Uganda, oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutta mugenzi we.
Mu May 2022, omulamuzi wa kkooti enkulu Henry Kaweesa Isabirye yasingisa Kirabo omusango gw’okutemula muganzi we Desire Mirembe, eyali omuyizi mu Makerere University nga bino byonna byaliwo mu July 2015.
Dr. Kirabo yasingisibwa omusango guno nga taliiwo oluvannyuma lw’okubomba mu ggwanga bweyali ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti wakati ng’omusango guno tegunnawulirwa.
Yakwatiddwa ab’ebyokwerinda wiiki eno nga yakukunuddwa mu Kibuga Nairobi e Kenya nakomezebwawo wano ku butaka, era asimbiddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi David Matovu n’amusindika e Luzira okutuusa lwanayitibwa aweebwe ekibonerezo.
Obujulizi bulaga nti Kirabo yatemula muganzi we nga kyaddirira okufuna obutakkaanya, era omulambo gwe naagusuula mu bikajjo e Lugazi gyegwasangibwa nga guvunze.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam