Abatuuze be Kkungu Buwaate ne Najjeera ekisangibwa mu Kira division baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’omuwala ow’olubuto okugenda mu kaabuyonjo okwetaawuluza, omwana naagwa mu kaabuyonjo.
Omukyala ono mutuuze we Kkungu era ngabadde akola mu kawoteeri mu kitundu ekyo.
Omuwala agambye nti abadde agenda ku mulimu okukola, kwekuwulira ng’ayagala kugendako manju, kyokka olutuuseeyo awulidde omwana we afuluma mu lubuto omulundi gumu, n’agwayo mu kabuyonjo.
Annyonyodde nti olubuto lwe lubadde lwa myezi 8 gyokka, era ng’abadde tasuubira nti omwana abadde atuuse okuzaalibwa, era bwawulidde ng’aguddeyo mu kabuyonjo nakuba enduulu esombodde abantu abazze nebamuyamba okumuggyayo.
Police ye Najjeera ng’ekulembeddwamu ASP Amulen Pauline nabasirikale abalala batuuse mangu okuyambako abatuuze okuggyayo omwana ne nnyina nebabaddusa mu ddwaliro lya Malcolm .
Abasawo bawadde amagezi eri abakyala ab’embuto ezikuze okubeera abegendereza nga bagenzi mu kabuyonjo.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo