Abalunnyanja abasoba mu 600 ku Mwalo gwe Mugungu mu Ntenjeru-Kisoga Town Council mu district eye Mukono boolekedde okulwala endwadde eziva ku bukyafu nga Cholera, Typhoid, n’endala olw’obutaba na Kabuyonjo.
Abalunnyanja bategeezezza nti Kabuyonjo emu gyebaalina mu kitundu yajjula kati ebbanga lya mwaka mulamba oguyise.
Mu mu kiseera kino kati beyambira mu nsiko n’abalala mu nnyanja ekyolekedde okubaleetera endwadde.
Nga bakulembeddwamu Ssentebe wabwe Ntalo Umar balaajanidde abakulembezze babwe ne bekikwatako bonna okubataasa ku kizibu kino nga babazimbira Kabuyonjo.
Bisakiddwa: Kawere Wilber