Wabaddewo katemba mu kkooti y’omulamuzi weddaala erisooka atuula e Buwama mu district ye Mpigi Tuhinbise Valeria, kkooti bweyejjjeerezza omwana ne taata we emisango gy’okulwanira mu lujjudde, ne buli omu okwoonoona ebintu bya munne.
Muwonge Alozius yawawaabira kitaawe Lubega Vicent okumwonoonera essimu ye n’okumukuba.
Lubega naye yawawaabira mutabani we oyo ogwokumutiisatiisa ‘okumukuba , kyokka emisango gino gyonna omulamuzi agyibejjeerezza bombi.
Wabula Lubega asingisiddwa ogw’okwonoona ebintu bya Lubega omuli ennyumba n’ekibira kya kalittunsi.
Amusindise ku alimanda okutuusa nga 20 September.2023 lwanamusalira ekibonerezo.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi