Eggye ly’eggwanga erya UPDF litegeezezza nti lyokka lyeririna obuvunaanyizibwa obukuuma enzizi z’amafuta ga Uganda zonna, era nti kyekyaweebwa olukusa okukuuma eby’obugagga by’eggwanga mu bitundu byonna.
Bino byogeddwa Omuduumizi wa UPDF Gen. Wilson Mbasu Mbadi abadde mu nsisinkano y’olukiiko okukulembera UPDF n’olukiiko olukulembera company ye gwanga ekola ku mafuta eya Uganda National Oil Company ku kitebe ky’amagye e Mbuya.
Mbadi agambye nti enzizi z’amafuta zonna mu bitundu ebye Bunyoro zetaaga obukuumi obw’amaanyi saako ekitundu kyonna eky’e Bunyoro okwewala bannakigwanyizi abataagaliza Uganda kufuna mu mafuta gaayo, era omulimu guno ogw’okubikuuma gulina kukolebwa Maggye g’e ggwanga.
Ssenkulu w’ekitongole ki Uganda National Oil company Proscovia Nabbanja ategezezza nti obukuumi bwebetaaga mu UPDF kuliko okutangira obutujju, okubalukawo kw’omuliro,bbomu ezibaluka saako ebintu ebirala ebyekuusa ku muliro nti kubanga byebyokka ebiyinza okuteeka amafuta g’e gwanga mu katyabaga.
Enzizi bino kuliko eze Tilenga mu district ye Buliisa, Kingfisher Buhuka mu district ye Kikuube n’endala.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Amyuka omuduumizi wa UPDF, Lt Gen Peter Elwelu, Joint Chief of Stuff Maj Gen Leopold Kyanda, Deputy Director National Enterprise Corporation Maj Gen (Rtd) Innocent Oula, Commander I Div Brig Gen Joseph Ssemwanga, Director Training Brig Twinamatsiko, Chief Personnel and Administration Brig Gen James Kinalwa saako abakungu abakwatibwako ensonga mu Uganda National Oil Company.
Bisakiddwa: Ssebuliba William