Ba Sentebe ne bamemba ku bukiiko obukulira eby'ettaka mu Gombolola ezikola ekibuga Kampala obwa Division Area Land committee balayiziddwa, era bakubiriziddwa okukola ekisobo okulaba nga emivuyo gy'ettaka omuli n'okugobaganya abantu...
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board kikakasizza abantu 14,000 abagenda okukiyambako okugolola ebigezo by'a bayizi ba P.7,S.4 ne S.6. Ebifo 33 abagolola ebibuuzo bino mwebagenda...
Emmotoka kika kya Toyota Premio esaangiddwa ng'erekeddwa mu kkubo wakati mu lusenyi ku kyalo Bugenge mu ggombolola ye Mateete mu district ye Ssembabule, wabula nga teriiko namba. Wabula okusinziira ku...
Ministry evunanyizibwa ku nsonga z'abakozi ba government eya Public Service, kyadaaki ekkirizza okuggyawo ekkoligo ly’obutawandiisa bakozi ku bitongole bya government ebimu, okubisobozesa okukola emirimu. Ministry ya public service n'olukiiko lwa...
Omusibe eyamenya ennyumba yómukuumi wámakomera nábbamu emmundu 4 asimbiddwa mu maaso gómulamuzi nákkiriza emisango, násindikibwa ku alimanda mu kkomera lye Budaka. Ayub Magumba omugoba wa bodaboda nga mutuuze we Tirinyi...
Abadde omukiise wa Ssaabasajja Kabaka mu Lukiiko lwa Buganda era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu Owek Joyce Rovincer Mpanga aziiikiddwa mu njuuye ey'olubeerera ku kyalo Maya ekisangibwa mu district ye Wakiso mu...
Abatemu abebijambiya balumbye omusuubuzi w'emmwanyi ne mobile money mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi,nebamutematema balesse ataawa nebakuuliita n'ensimbi. Atemeddwa ye Benard Munyaneeza omutuuze ku kyalo Lwembiriiti e Kitanda Bukomansimbi. Kato...
Kooti etaddewo olwa nga 27 November,2023 okuwulira okusaba kwa ssenkulu w'ekitongole kya government ki Uganda Railways Corporation Stanley Ssendegeya, okuyimbulwa ku kakalu ka kooti, ku bigambibwa nti yajiingirira ebiwandiiko by'obuyigirize...