Abadde amyuka bwana mukulu w’ekigo kye Lwebisiriiza mu ssaza ly’ekelezia erya Kiyinda Mityana Rev.Fr.Lawrence Mudduse Yawe afiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Kyenda ku luguudo lwe Hoima.

Kigambibwa nti akabenje kaavudde ku mugoba wa bodaboda eyavugisizza ekimama, emmotoka ya taxi n’egezaako okumuwugula, kwekusaabala emmotoka ya father No.UAW 369C.
Abaddukirize bamugyewo nebamuddusa mu kalwaliro akaliraanyewo okufuna obujanjabi obusookerwako, wabula abadde atwalibwa mu ddwaliro e Nsamba n’assa ogw’enkomerero.
Bwanamukulu wa lutikko ye Kiyinda eya St.Noa Mawaggali Rev. Fr. Stephen Lusiba ategeezezza nti Fr.Mudduse abadde yakakyusibwa okuva mu kigo kye Buyambi emyezi ebiri egiyise, n’aweerezebwa mu kigo kye Lwebisiriiza era gyeyabadde agenda.
Fr.Lusiba agambye nti omulambo gwa Fr.Mudduse gugenda kusuzibwa mu Kiyinda, aziikibwe nga 29 December,2023 ku lutikko mu Kiyinda Mityana. Wakusookawo emissa y’okumusabira ku saawa mukaaga ez’emisana, olwo aziikibwe ku ssaawa munaana.
Fr. Lawrence Madduse Yawe okufuna akabenje yabadde ava ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’essaza lye Kiyinda Mityana, eryabadadde lijaguza okuweza emyaka 42 bukyanga litandikibwawo, nga likutulwa ku ssaza ekkulu erye Kampala,
#