Abatemu abebijambiya balumbye omusuubuzi w’emmwanyi ne mobile money mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi,nebamutematema balesse ataawa nebakuuliita n’ensimbi.
Atemeddwa ye Benard Munyaneeza omutuuze ku kyalo Lwembiriiti e Kitanda Bukomansimbi.
Kato Alosius Matovu ssentebe w’ekyalo Lwembiriiti agambye nti abatuuze bawulidde enduulu ku ssaawa nga munaana ez’ekiro nebatuuka okutaasa munabwe, wabula basanze ababbi basaze eddirisa ly’enju ye mwebayise nebamutemaatema n’okunyaga ensimbi ze eziwera obukadde bwa shs busatu.
Bamuddusizza mu ddwaliro e Kigangazzi, era ne Police ye Kikuuta ne Kitanda nazo nezitandikirawo omuyiggo ku batemu.
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubarak Junior