Omusibe eyamenya ennyumba yómukuumi wámakomera nábbamu emmundu 4 asimbiddwa mu maaso gómulamuzi nákkiriza emisango, násindikibwa ku alimanda mu kkomera lye Budaka.
Ayub Magumba omugoba wa bodaboda nga mutuuze we Tirinyi Central A Cell mu Tirinyi Town Council asindikiddwa ku alimanda omulamuzi wa kooti ento e Kibuku Abubaker Matanda.
Magumba ne banne abalala abakyawenjezebwa baamenya ngénnaku zómwezi 15 November, 2023 baamenya ennyumba yómukuumi wékkomera lye Kibuku Corporal Wadder Boniventure Okea nebabbamu emmundu 4, nga zonna zibalirirwamu obukadde bwa shs 2,400,000/=.
Kooti etaddewo olwa nga 27th, November, 2023 lwanaddamu okuleetebwa mu kooti okumusomera omusango mu bujjuvu, nóluvannyuma asalirwe ekibonerezo.
Bisakiddwa: Betty Zziwa