Emmotoka kika kya Toyota Premio esaangiddwa ng’erekeddwa mu kkubo wakati mu lusenyi ku kyalo Bugenge mu ggombolola ye Mateete mu district ye Ssembabule, wabula nga teriiko namba.
Wabula okusinziira ku kapapula k’omusolo akagiriko kaliko enamba UAT 320K mu mannya ga Kalyesuubula Gyaviira.
Abatuuze abamu bateebereza nti nannyini yo yaliba nga yagudde mu batemu n’ebamutta n’ebamusuula mu lusenyi luno oba nti ng’ababbi bagibbye neebalemerera.
Emmotoka esangiddwa ku makya ng’esimbiddwa mu kkubo erijjudde ettosi mu lusenyi ng’etokota, bakanze kulinda nnyini yo okumala esaawa eziwera nga tevaawo, abatuuze nebatemya ku police.
Police y’e Mateete egenze n’ejiggyawo.#