Ba Sentebe ne bamemba ku bukiiko obukulira eby’ettaka mu Gombolola ezikola ekibuga Kampala obwa Division Area Land committee balayiziddwa, era bakubiriziddwa okukola ekisobo okulaba nga emivuyo gy’ettaka omuli n’okugobaganya abantu gikomezebwa mu Kampala.
Ssemugooma Hamdan Kigozi yakulembeera akakiiko k’ettaka mu Lubaga, Mayanja John Bosco wa Kakiiko ke Kawempe, ate Musende John yatwala eke Nakawa, ebirayiro babikubidde mu maaso g’omulamuzi wa Kooti ya City Hall.
Egombolola ye Makindye ne Kampala Central zaalemererwa okuweereza amannya ga bamemba abatuula ku bukiiko bw’ettaka.
Bwabadde mu kulayiza ba member ku city Hall mu Kampala Lord Mayor Ssalongo Erias Lukwago yekokodde emivuyo egifumbekedde kuttaka lyomu Kampala , bwatyo alabudde abalondeddwa obutagezaako kwenyigira mu kunyigiriza abantu.
Nasser Basajjabalaba member ku jakiiko k’e ttaka mu Kampala ategezeza nti ettaka mu Kampala liriko okusoomozebwa kungi, nga n’olwekyo abakulira obukiiko bw’ettaka mu Gombolola basaanye okubeera abeegendereza.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius