Ministry ya ssemateeka n’essiga eddamuzi ekkiriza omuwendo gw’abalamuzi gavument gweyali eyagala okwongeza mu kkooti ejjulirwaamu ne kkooti ensukulumu gukendeezebweeko olwensonga ezize zinokolwaayo ababaka ku kakiiko ka palament akalondoola ensonga zamateeka.
Gavument ngeyita mu minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi era ssenkaggale wa DP Nobert Moa, yayanjula mu parliament ennoongosereza mu tteeka erifuga kkooti erya Judicature Act, ng’eyagala okwongeza omuwendo gw’abalamuzi okuli abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu okuva ku balamuzi 15 okudda ku balamuzi 55, n’abalamuzi ba kkooti ensukulumu okuva ku balamuzi 11 okutuuka ku balamuzi 21.
Ababaka ku kakiiko ka parliament akebyamateeka babadde baguwakanya okuva lwebaatandiika okwekeneenya ebbago lino nti mungi nnyo, ku mbeera y’eggwanga eryavu nga Uganda.
Mu nsisinkano y’akakiiko kano ne minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao, ababaka era basimbidde ekkuuli omuwendo guno, ekiwaliriza minister Nobert Mao okutegeeza akakiiko nti bakkiriza omuwendo gwebaali banjudde gukeendeezebweko, wakiri bongezeeko abalamuzi 4 okuweza omuwendo gwabalamuzi 15 mu kkooti ensukulumu sso ssi 21, bebaali basoose okuteeka mu nnongosereza.
Gwo omuwendo gwabalamuzi ba kkooti ejjulirwamu government gweyagala okwongeza okuva ku balamuzi 15 okutuuka ku balamuzi 55, gukyaliko kaluma nyweera.
Ababaka bagala gukendeere ssonga government eyagala gusigale nga bweyagulambika mu nnongosereza zeyayanjula.
Okwongeza omuwendo gw’abalamuzi ba kkooti ejjulirwaamu ne kkooti ensukulumu, government egamba nti ekikola okukendeeza ku misango egyetuumye mu kkooti ezo.#