Abadde omukiise wa Ssaabasajja Kabaka mu Lukiiko lwa Buganda era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Owek Joyce Rovincer Mpanga aziiikiddwa mu njuuye ey’olubeerera ku kyalo Maya ekisangibwa mu district ye Wakiso mu Busiro.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bwa Owek Joyce Mpanga, era namwebaza okubeererawo Obwakabaka ng’ayita mu buweereza obwenjawulo.
Mu bubaka Maasomooji bwatisse Naalinnya Sarah Kagere, agambye nti Owek Joyce Mpanga yakola Kinene mu kaweefube w’Okuzzaawo Obwakabaka mu 1993, Ssonga ne mu biseera byobukulembeze bwa Kabaka Muteesa II yali wankizo.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga ng’akiikiriddwa omumyukawe owokubiri Owek Past District Govnor Robert Waggwa Nsibirwa, naye ayogedde ku mugenzi nga omuntu owenkizo mu byafaayo bya Buganda ne Uganda.
Omukulembeze w’Eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni akiikiriddwa omumyuka wa Ssaabaminister owookusatu Hajat Rukia Nakadaama,asaasidde Obuganda ne Uganda yonna kyokka mungeri eyenjawulo namweebaza okubeera omwetowaaze.
Muk’Omukulembeze w’Eggwanga Janet Kataha Museveni nga akiikiriddwa Olive Lumonya ku lw’ekitongole ki Uganda’s effort to save Orphans ,yebazizza Owek Joyce Mpanga,olw’okubeera omusaale mu kutandikawo ekkungaanyizo ly’Abaana abatalinaako mwaasirizi ki Masuliita children’s village.
Eyaliko Omumyuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Dr Specioza Wandella Kazibwe alabudde abakyaala abali mu bifo ebisalawo kyokka nebasalawo kuzinga mikono nga eggwanga linyagululwa, nti basaanye bekube mu mutima.
Omukulembeze w’Ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine ayogedde ku mugenzi nga omuntu abadde omwesimbu mu buweerezaabwe, era atabadde mulyaake mu mirimu gyekikyalemye abakulembeze bangi.
Rt Col Dr Kiiza Besigye alaze okutya olw’enkuza y’Abaana etali nnungi era eviiriddeko ensi obutabaamu bwenkanya, neyeebaza Abaana b’Omugenzi nga bakulembeddwamu Owek David Mpanga okumuwolereza mu misango egitali gimu.
Owek Joyce Mpanga bamukubidde emizinga 3 nga bwekyalambikiddwa government, nga yeebazibwa olw’obuweereza obusukkulumu eri eggwanga lye n’ensiiye Uganda.
Okuziika kuno kwetabiddwako Abalangira n’Abambejja, ba Nnaalinnya, ba Katikkiro abaawummula, ba minister ba Buganda ne gavumenti eyawakati, bannaddiini, bannabyanjigiriza, abaami b’Amasaza ababaka ba parliament n’ebikonge ebirala bingi.
Ebyafaayo:
Joyce Rovincer Mpanga yazaalibwa nga 22 January,1933, naafa nga 18 November,2023.
Yasomera Gayaza Junior, Gayaza High, Makerere College, Makerere University (1953-1958), University of Indiana Bloomburg mu United States of America.
Abadde mubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu lukiiko lwa Buganda okuva mu 2009.
Ye mukyala owokusatu ku bakyala abasooka okufuna degree mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
Ye yasooka okubeera omumyuka w’Omukulu w’esomero lya Gayaza High School.
Ye musomesa omukyala eyasooka okusomesa mu Makerere University.
Yaliko omukiise wa Uganda mu lukiiko lwa LegCo.
Yaliko omubaka wa parliament wakati wa 1996 – 2001 ng’akiikirira district ye Mubende.
Owek. Joyce Mpanga yaliko minister avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abakyala mu government eya wakati okuva mu mwaka gwa 1988 – 1989.
Yaliko minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako wakati wa 1989 – 1992.#
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa