Kooti etaddewo olwa nga 27 November,2023 okuwulira okusaba kwa ssenkulu w’ekitongole kya government ki Uganda Railways Corporation Stanley Ssendegeya, okuyimbulwa ku kakalu ka kooti, ku bigambibwa nti yajiingirira ebiwandiiko by’obuyigirize n’aweebwa omulimu.
Kooti ya Buganda road esindise Ssendegeya ku alimanda e Luzira, oluvannyuma lw’okukwatibwa akakiiko aka State House Anti corruption Unit bweyabadde agenda ku ddwaliro erya Nakasero Hospital
Ssendegeya asiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku kooti ya Buganda road Siena Owomugisha, neyegaana emisango gy’okujingirira ebiwandiiko by’obuyigirize ebya masters Degree in Business Administration.
Oludda oluwaabi lulumiriza Ssendegeya Stanley omutuuze we Namugongo Janda mu Wakiso district, nti mu mwezi gwa July 2020 yajingajiinga ebiwandiiko ebiraga nti alina masters degree in Business Administration, naabitwala mu kampuni ya Delloit Uganda Ltd ku Lumumba Avenue, eyali ekwasiddwa omulimu gw’okusunsula abakozi.
Ssendegeya emisango agyegaanye, era ng’ayita mu munnamateeka we Benon Tusasirwe asabye omulamuzi ayimbulwe ku kakalu ng’agamba nti obulwadde bwalina tebumusobozesa kufunira bujanjabi mu kkomera.
Aleese abamweyimirira 3 okuli mukyala we, mutabani we ne Nnazaala we.
Omuwaabi wa kooti Judith Nyamwiza agambye nti bakyalina byebakyanoonyereza ku musanvo guno, omulamuzi kwekusaawo olwa nga 27 November,2023 omuwulira okusaba kwe.
Gyebuvudde Kaliisoliiso wa government yafulumya alipoota eyalaga nti waliwo abakozi ba government n’ebitongole eby’obwannanyini ebijjuddemu abakozi abaajingirira ebiwandiiko by’obuyigirize nebawebwa emirimu nga tebasaanidde.
Bisakidddwa: Betty Zziwa