Alipoota y'akakiiko akalezi k'eddembe ly`obuntu mu ggwanga, aka Uganda Human Rights Commission, eraze nti embeera abasirikale ba police mwebakolera emirimu yebaviirako okuva mu mbeera nebakozesa obukambwe obutetagisa ku bannansi. Alipoota...
Obusumba bw’e Najjanankumbi mu kkanisa y’Abadiventi mu Uganda bwanjulidde Katikkiro wa Buganda enteekateeka z’okujaguza emyaka 75 nga babuulira enjiri ya Kristo ey’obulokozi. Nga bakulembeddwamu Omusumba w’Obusumba buno, Noah Ssekitto beeyanzizza...
Abamu ku ba mmemba mu kibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society bateekateeka okuzira omukolo gw'essiga eddamuzi, ogw'okutongoza omwaka gw’amateeka omuggya ogutegekeddwa ku friday nga 09 February,2024 ku kitebe ky’ekitongole...
Omulamuzi Julia Ssebutinde munnauganda atuula mu kkooti y'ensi yonna etaawulula entalo n'obutakaanya wakati w'amawanga eya International court of Justices, alondeddwa okubeera omumyuka wa president wa kkooti eno. Ekifo kino wakukiweererezaamu...
Leero ennaku z'omwezi 06 February,2024, giweze emyaka 43 bukyanga eggye Lya UPDF ligunjibwawo. Ebikujjuko by'olunaku lw'amagye ebimabyiddwa nga Tarehe Sita bitegekeddwa mu District ye Bugweri. Abayeekera ba National Resistance Army...
Laddu ekubye omusomesa wa Nambaale primary school mu district ye Iganga nafiirawo. Omugenzi ye Roy Kanage wa myaka 48. Laddu emuttidde kumpi ku kisaawe ky'essomero w'abadde asibye enteeze, ng'olukuba lufuuyirira....
Essiga eddamuzi litaddewo olwa nga 29 February,2024 abalamuzi ba kooti ez'enjawulo lwebagenda okukuungaanira mu kifo kimu ku kisaawe ky'amefuga e Kololo, okuddamu ebibuuzo by'abantu ba bulijjo ebikwata ku by'amateeka, n'okwagazisa...
Ekitongole kyeggwanga ekikettera munda mu ggwanga ki Internal Security Organisation ISO kiri mu nteekateeka ey'okuwandiisa ba mbega abalala,okwongera kwaabo abaliwo. Ba mbega bano bayambeko okukettera n'okuwa ebitongole by'ebyokwerinda amawulire, gebesigamako okulwanyisa...