Essiga eddamuzi litaddewo olwa nga 29 February,2024 abalamuzi ba kooti ez’enjawulo lwebagenda okukuungaanira mu kifo kimu ku kisaawe ky’amefuga e Kololo, okuddamu ebibuuzo by’abantu ba bulijjo ebikwata ku by’amateeka, n’okwagazisa abantu emirimu gya kooti.
Omuwandiisi omukulu owa kooti Sarah Langa aganbye nti enteekateeka eno yesookedde ddala era bonna okuli abalamuzi ba kooti ensukkulumu,kooti ejulirwamu, n’ebiwayi omusanvu ebya kooti enkulu ebikola ku nsonga ezenjawulo bakubeerawo.
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe ky’essiga eddamuzi mu Kampala, omulamuzi wa kooti ensukkulumu Mike Chibita agambye nti mu ngeri yeemu abalamuzi bakubeera n’olukungaana lwabwe olw’omulundi ogwe 25, nga bakubanga ebirowoozo ku ngeri ezisaanidde ez’okutuusamu obwenkanya eri abantu (A people Centred Approach to Justice).
Olukungaana luno era lwakwekubamu tooci ku ngeri y’okukendeeza obungi bw’emisango egikaandaalirira mu kooti, okukendeeza obudde mwegisalirwa, n’engeri y’okweyambisaamu technologia omuggya mu kuwa ensala ( artificial intelligence judgment writing tool and parenting)
Ebyo byonna nga tebinabaawo essiga eddamuzi lyakuggulawo omwaka gw’eby’amateeka nga 09 February,2024, n’okuggulawo ekizimbe ekiggya ekigenda okutuulako kooti ezenjawulo.
Omuteesiteesi omukulu ow’essiga eddamuzi Pius Bigirimaana agambye nti ekizimbe kino ekiriko emyaliriro 9 kyawedde bulungi, nga kyawemmense obuwumbi bwa shs 100.
Bisakiddwa : Betty Zziwa