Laddu ekubye omusomesa wa Nambaale primary school mu district ye Iganga nafiirawo.
Omugenzi ye Roy Kanage wa myaka 48.
Laddu emuttidde kumpi ku kisaawe ky’essomero w’abadde asibye enteeze, ng’olukuba lufuuyirira.
Sentebe wa district ye Iganga Ezra Gabula wasinzidde n’ajjukiza goernment okuzzaawo enkola y’okuteeka Obuuma obukwata Laddu ku buli ssomero.
Bisakiddwa: Kirabira Fred