Leero ennaku z’omwezi 06 February,2024, giweze emyaka 43 bukyanga eggye Lya UPDF ligunjibwawo.
Ebikujjuko by’olunaku lw’amagye ebimabyiddwa nga Tarehe Sita bitegekeddwa mu District ye Bugweri.
Abayeekera ba National Resistance Army abaali baduumirwa Yoweri Museveni besogga ensiko nga 6 february 1981.
Ku lunaku luno kwebaatanula olutalo olw’okutwala obuyinza okuva ku government eyaliko ebiseera ebyo, omwava eggye lyebaatuuma National Resistance Army, oluvanyuma eggye lino nelifuulibwa Uganda Peoples Defence Force –UPDF
Omuduumizi wa UPDF Gen Wilson Mbasu Mbadi agamba nti okuva UPDF lweyatondebwawo esobodde okuweereza banna uganda awatali kusosola , okukuuma obutebenkevu mu ggwanga n’amawanga amalala , okusomesa abasirikale nookubawa obukugu mu bintu ebyenjawulo.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius