Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu district ye Wakiso kalambudde ekkomera ly'e Kitalya erisangibwa mu Wakiso gyebasanze omijjuzo gw'abasibe, nga kyeraliikiriza naabalikulira. Akakiiko kano kabadde kalambula embeera abasibe gyebabeeramu mu kkomera lino...
Abaddukanya amaka agalabirira abaana abataliiko bazadde babwe okuli Nsambya Babies Home ne Sanyu Babies Home basabye government ebayambeko ku mulimu gw’okulabirira abaana bano nga babawa ebimu ku bikozesebwa. Barbra Mutagubya...
Police mu kibuga Masaka ekutte omugoba wa bodaboda ateeberezebwa okuba nga yasse omukyala abadde akola business ya Mobile money mu kibuga Masaka. Eyatiddwa ye Nakatudde Jackie amanyiddwa nga Maama Owen...
Nnabbambula w'omuliro asaanyizzaawo ebintu by'abatuuze mu kitundu ekiyitibwa Gwowonyeggere mu bitundu bye Masajja ku njegoyego za Kampala. Omuliro ogutandise ku ssaawa nga mwenda ez'ekiro gukutte amadduuka n'ennyumba z’abantu ezisulwamu. Kiteeberezebwa...
Alipoota ya police ekwata ku bumenyi bw’amateeka eya wiiki emu raze nti abantu abasoba mu 800 baakwatiddwa mu bitundu bya police 18, nga Kampala yeeridde empanga mu bamenyi b’amateeka. Okusinziira...
Kyadaaki police mu Kampala némiriraano emmundu eyali yabbibwa ku musirikale mu bitundu bya Kafumbe Mukasa road mu Kisenyi. Police ekoze omuyiggo nebasanga nga yasuuliddwa ku kasasiro, oluvanyuma lwábantu abakolera ku...
Entiisa egudde mu kitundu kye Kayabwe mu district ye Mpigi, omukuumi w'emmotoka bwagipakuddewo n'emulemerera okusiba, okukakkana ng'atomedde abaana 2 naabatta, omwana omulala alumiziddwa. Enjega eno eguddewo ssaawa nga bbiri ez'ekiro...