Omumbejja Diana Balizzamuggale Teyeggala aterekeddwa mu Masiro e Kasubi nga 22 December,2025, nga yafiiridde ku myaka 59 egy'obukulu. Omumbejja Balizzamuggale Teyeggala yoomu ku baana ba Ssekabaka Muteesa II, era taata...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alangiridde nti Omumbejja Diana Balizzamuggale Teyaggala aterekebwa ku Monday nga 22 December, 2025 mu Masiro e Kasubi. Omumbejja Diana Teyeggala eyabuze muwala wa Sssekabaka...
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ayagalizza abakozi mu bitongole by'obwakabaka byonna, amazaalibwa amalungi age ssanyu n'omwaka 2026 omujja ogw'emirembe. Ku kkono omulangira Herbert Kateregga n'Omuzaana...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde government okukwasizaako abantu mu bitundu ewayiikulwa amafuta okuganyulwa mu by'obugagga ebivaayo, kiyambeko n'ebitundu byabwe okukulaakulana. Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde asisinkanyemu ekibinja ky'abakungu...
Jjaja wa Buganda Omulangira Dr. Kasimu Nakibinge Mbuga asoomozezza abantu ba Buganda okufaayo ennyo ku Masiro ga ba Ssekabaka, nti kubanga byebimu kwebyo ebyongera Buganda ettutumu mu nnono n'ebyobuwangwa. Omulangira...
Omukulembeze w'Ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine akiise embuga mu Bulange e Mengo, mwasisinkanidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n'Abakulembeze mu Bwakabaka abalala. Kyagulanyi Ssentamu...
Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nti okuzzaawo Amasiro ge Kasubi kuwedde, oluvannyuma lw'Emyaaka egisukka mu 12 nga gazimbibwa. Katikkiro wa Buganda Charles Peter yalangiridde Obuwanguzi buno, ng'asinziira mu Masiro e Kasubi....
Ensimbi akawumbi ka shillingi kamu n'Obukadde lusanvu mu Nkaaga ( shs 1.760 billion) zezireeteddwa abantu ba Kabaka mu nkola ya Luwalo Lwange, omwaka guno 2025. Ku nsimbi zino Obukadde 163...