Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government eyaawakati atuukirize obweyamo, ekomyewo ebintu by'Obwakabaka byonna . Katikkiro abadde asisinkanye bannamawulire mu Bulange e Mengo, okukuba tooki ku bituukiddwako mu bbanga...
Read moreKatikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebitongole by'obwanakyewa ebirafuubanira eddembe lyóbuntu mu Uganda okuyambako abavubuka bamanyisibwe ebyobufuzi ebyetoloolera ku mazima n'obwenkanya, nti kuba kyekikyasomooza obukulembeze mu Africa. Katikkiro abadde...
Read moreKatikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y'atemye evvuunike ly'okutandika okuzimba eddwaliro lino ku mbuga y'egombolola y'e Busimbi mu ssaza Ssingo. Eddwaliro Obwakabaka bwerigenda okuzimba lyakubeera ku mutendera gwa health center...
Read moreOmutaka abadde ow'akasolya mu kika ky'akayozi Kafumu Emmanuel Hobison Ddamulira Ssebitaaba Bitaaba aterekeddwa ku kyalo Mbaale Kiganwa mu ssaza Ssingo. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab'ekika...
Read moreObwakabaka bwa Buganda butongoza bboodi empya eya kkampuni y’essimu eya K2 Telecom ejjudde. Omulangira Arthur Mawanda alondeddwa nga Ssenkulu waayo ate Omukungu Sekabembe William ye ssentebe wa bboodi eno. Omulangira...
Read moreAb'ekika ky'abeddira Akayozi banjudde omutaka w'akasolya omuggya Kafumu Batuuka Kizito, azze mu bigere bya Omutaka Emmanuel Obison Ddamulira Ssebitaaba eyabuze. Kafumu omuggya bamwajulidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku...
Read moreOmumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika w`Obwakabaka past District Governor Owek Robert Waggwa Nsibirwa atongozezza bulungi bwansi ow`okugogola ennyanja ya Kabaka. Ennyanja ya Kabaka esangibwa mu Ndeeba mu...
Read moreObwakabaka bwa Buganda bugabidde abaami ba Kabaka ab'amagombolola pikipiki mu nteekateeka egendereddwamu okubayambako okutuuka ku bantu ba Kabaka yonna mu byalo gyebali, mu kawefube w'okubamanyisa ku kirwadde kya siriimu. Abaami...
Read moreAb'ekibiina kya Kampala Hash Harriers abaddusi b'embiro empanvu mu nkola ey'okwewummuzaamu bajaguzza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda age 68 mu ngeri eyenjawulo. Bakulembeddwamu Omulangira Daudi Kintu Wasajja. Omukolo...
Read more