Mu program Entanda ya Buganda eya nga 26 October,2023 Balunginsiiti Steven eyafunye obugoba 29 ne Kabuuka Jamiru eyafunye obugoba 22 baayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Nannyondo Scovia eyafunye obugoba 9, yawanduse.
Bino bye bibuuzo ebyababuuziddwa;
1. Olugero: Eziruma munno tezikulobera kwebaka, enki? – Enjoka.
2. Tuweeyo omuzizo gumu ku bintu ebireetebwa mu kibi? – Bwebiba byakulya tebyeyanzibwa.
3. Omunwe gwa lumonde ogwekweka munda eyo mulwaliiro guyitibwa enkukumu, tuweeyo omuzizo gumu ku nkukumu. – Lumonde oyo taweebwa mwami.
4. Tuwe amakulu g’ekisoko, okuba mu ly’e Bukeerere – Okubeera mu mirembe egiyitiridde.
5. Ani yawandiika ekitabo Kikonyogo? – Kiwanuka Musisi
6. Kasooli aswankula atya? – Bwateekako obunwe obubi ate nga bwamalibu.
7. President Obote bweyawambibwa yali mu nsi ki? – Singapore.
8. Ekibumbe ekitannaba kkwokebwa kiyitibwa kitya? – Omwali.
9. Ziribbulukukira mu mabidde, yeerabira enkenku. Ziba nki? – Nsimbi.
10. Tuweeyo omulimu gumu ogukolebwa omujjwa mu buwangwa bwa Abaganda – Omujjwa y’akuma ogwoto.
11. Kwanaganya ekigambo kino Ensobyo n’okulima lumonde – Ke kati akakozesebwa okusima lumonde.
12. Amakulu g’ekisoko, eyevviivi okuba nga tekyasaka – Okukoowa ennyo nga n’enjala ekuluma.
13. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome ebiteesiba? – Thomas Kagera.
14. Waliwo kasooli gwebayita ow’amasimbi simbi, yaatya? – Ye kasooli aba n’empeke mu langi ez’enjawulo.
15. Gavumenti ya Obote bweyawambibwa, yagenda mu buwanganguse, yagenda mu nsi ki? – Tanzania.
16. Omubumbi wa Kabaka omukulu yeddira Ngeye, yaani erinnya lye ery’ennono? – Omutaka Sseddagala.
17. Olugero: Ezinunula omunaku, Katonda azitunga kiro. Enki? – Entembe.
18. Bwogenda awali abafiiriddwa obasaasira nti nga kitalo nnyo, tuweeyo engeri endala gyoyinza okubasaasiramu? – Nti nga bizze bubi.
19. Abalimi ba lumonde balina ekigambo ekibwebwe, kitegeeza ki? – Lumonde awuttadde ennyo nga takyaliika.
20. Amakulu g’ekisoko, okukifuuwa ng’okizza mu nda. – Okukola ekintu ekyobulabe newejjusa.
21. Ani yawandiika ekitabo Gwolulambuza? – Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu.
22. Ekikolwa kya kasooli okuteekako empeke obulungi ennyo kiyitibwa kitya? – Okuwanga.
23. President Obote okuwambibwa yali agenze mu lukiiko, lukiiko ki? – Common Wealth.
24. Tekikkirizibwa mukazi kubumba wano mu Buganda, kiki kyakkirizibwa okubumba? – Emmindi.
25. Kasooli yeetuga atya? – Omunwe okukoonoka neguva ku kikolo ne gugwa
26. Olugero: Bwolaba omuwuulu aliko entumbwe – ng’asula mwajjajjaawe.
27. Ow’ennamataba kisoko, omutaka oyo yaani? – Omutaka Mulindwa.
28. Empagi ennene Omuganda gyassa wakati mu nju ye, agitema mu muti ki? – Musambya.
29. Kalikyejo ng’enjobe erya Obugala, Obugala bwebuki? – Obutoogo obuto.
30. Tubuulire Katikkiro eyatuuma Kabaka we Ssemunywa? – Kayiira.
31. Tuweeyo emigaso ebiri mu buwangwa bwa Buganda – Kituyamba okusibiramu emmere, era kituyamba okunoneramu emmere mu nnimiro.
32. Tuweeyo ebintu bibiri eby’ennono mwebakola olweyo lw’Omuganda olwera mu nnyumba – Mukonzikonzi n’akakakumirizi nekassibwamu kamu.
33. Tubuulireyo ebisoko bibiri ebitegeeza okulima omuddo ng’okozesa enkumbi – Okuliisa goonya n’okusamba ennanda.
34. Olugero: Ewaakanyumiza – tewaala nkoko waala mayuba.
35. Omutaka jjajja w’abeddira Enkejje erinnya lye ery’ennono. – Omutaka Kikwata.
36. Tuweeyo emigaso ebiri egy’omuti oguyitibwa omukebu mu nnono y’abaganda – Gibajjibwamu eryato ly’okumazzi n’okukuuma obutonde bw’ensi.
37. Ekinu bwekyatika Omuganda akiyita atya? – Akanyomo.
38. Ekisoko: okukuba omuntu akalali kitegeeza ki? – Okukola ekintu mu ngeri erumya abalala.
39. Ani akubira Kabaka empafu? – Omutaka Masiko.
40. Ekisoko ekintu okuba ekinnya n’empindi – Ebintu okuliraanagana ennyo.
41. Omwenge oguyitibwa entiriiga gwegutya? – Gwe mwenge ogwonooneka naye nga gwonooneka kuva mu lyato.
42. Amazaalibwa ga Kabaka gakuzibwa ddi? – Nga 13 April.
43. Olugero: Enkerettanyi – bwogitega amenvu erya bibombo.
44. Tuweeyo engeri bbiri Omuganda mweyayitanga okugunjula abaana – Yakozesanga ekyoto mpozzi n’okubayisaako ow’e Mbuya (Okubaku kibooko)
45. Eddagala eriyitibwa omuggumiza liva ku muti ki? Omuvule.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K