Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’agabula abakozi mu bitongole bya Buganda byonna, bwebabadde bakomekkereza empaka z’okuvuganya mu mizannyo egyenjawulo.
Emizannyo gino giyindidde mu Lubiri e Mengo omubadde omupiira ogw’ebigere n’ogwokubaka, volley ball, omweso,okusika omuguwa, Ludo, n’emirala egigendereddwamu okutumbula obumu mu bakozi b’obwakabaka.
Emizannyo gy’ebitongole by’Obwakabaka egyomwaka 2023 gikomekkerezeddwa, n’Omulanga eri ba ssenkulu b’ebitongole okugiwagira n’amaanyi, kubanga gigatta abaweereza mu Bwakabaka.
Bwabadde aggalawo empaka zino Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti emizannyo gino gikola kinene okugatta abaweereza mu Bwakabaka, n’Okutaggulula Obwongo bwabaweereza.
Katikkiro agambye nti wakyaliwo obwetaavu obw’abaweereza okukola dduyiro entakera, okukuuma emibiri nga miramu bulungi n’okulwanyisa endwadde eziva mu ttuula wamu.
Katikkiro alabudde abaweereza mu Bwakabaka ku kulya n’Okunywa ennyo ebintu ebiwoomerera kubanga byabulabe nnyo eri emibiri, kyokka nasaasira tiimu ya BBS Terefayina ekubiddwa Buganda Land Board n’egitwalako ekikopo gy’omupiira ogw’ebigere.
Ssenkulu wa BICUL holdings Roland Ssebuufu agambye nti emizannyo gy’Omwaka guno gijjumbiddwa bulungi , najjukiza abaweereza mu Bwakabaka obutagisuulirira kuba gikola ekitundu kinene ku nkola y’ebitongole bya Ssaabasajja.
Radio ya CBS eweereddwa obuvunaanyizibwa okutegeka emizannyo gy’Omwaka oguggya 2024, oluvannyuma lwa Enkuluze okutegeka empaka z’Omwaka guno 2023.
Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe yeeyamye okukola ekisoboka Omwaka ogugya , okulaba ng’empaka zeyongera okuba ez’omutindo.
Buganda Land Board yenywedde mu kendo ebitongole byonna eby’Obwakbaka, Namulondo n’egoberera.
Abalala abetabye mu mpaka zino mubaddemu CBS FM, Nkuluze, Ggwanika lya Buganda, Buganda Royal institute, Nnaabagereka Development Foundation, Buganda Royal Institute, Lubiri High, Lubiri palace,Buganda Tourism Board, Majestic Brands n’ebirala.
Oluvannyuma abaweereza bagabuddwa ekijjulo Ssaabasajja Kyeyasiimye n’abagabula okubadde okwokya ennyama, emmere n’Okunywa, embuutu n’ebirala.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa