Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aggalawo omusomo gw’obuwangwa ,ennono n’empisa ogutegekebwa bajjajja abatama ab’obusolwa ogw’omwaka 2023 ,naalagira nti ennyimbe zonna ziddemu zitambuzibwe mu nnono, okwewala ensowole
“Ennyimbe zisaanye zitambuzibwe mu mitendera gyonna nga bwekyakolebwanga twewale enkaayana n’okulya ensowole.
Empisa y’okwanjula ennyimbe esaanidde okugobererwa, abasika bamanye obukulu bw’obuvunaanyizibwa obubakwasiddwa”
Mu bubakabwe Maasomooji bw’atisse Naalinnya Sarah Kagere mu Lubiri e Mengo, Kalalaankoma, alagidde abazadde okussa essira ku nkola z’okuteekateeka abaana, mu kifo ky’okubategekera, ekibaviiridde bangi okubeera ab’omululu n’okugujubanira obusika.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga yoomu ku basomesezza ku mulamwa okutambuliziddwa omusomo guno,
ogugambye nti “Obusika mu Buganda musingi gwa Buntubulamu”.
Alabudde ku kikumpanya ttaka mu bika , mu basika n’Obutawangana kitiibwa ,kyagambye nti muziziko nnyo mu nkulaakulana y’Obwakabaka.
Agambye nti ettaka ly’ebika lyonna lirina kuvunaanyizibwako akakiiko k’abayima, okwewala abantu abamu okulyekomya.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde ku nkaayana mu by’obusika nti bumalawo obumu mu Buganda, ekiviiriddeko Obuntubulamu okuggwa mu Bantu.
Katikkiro agambye nti abantu beetaga bulijjo okujjukizibwa ku buwangwa bwabwe, nti kubanga ensi eri ku misinde egitagambika.
Awadde eky’okulabirako eky’enkyulakyuka eyaviirako amawanga agamu agaasaanawo okugeza erya ‘Abalooma’ nti ate nga siryadda nnyo, naye lyasaanawo kubanga Obuwangwa bwalyo bwasaabulukuka, n’amawanga amalala mangi gasaanawo.
“N’olwekyo kikulu nnyo okujjukiza abantu obuwangwa bwaffe ate nga bwetoololera ku busika, obusika obutambulira awamu n’obuntubulamu” Katikkiro Mayiga
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Augustine Kizito Mutumba, agambye nti omulamwa okutambuliziddwa omusomo gw’omwaka guno gugenda kumalawo okunabuuka kw’obuwangwa n’Ennono mu kwabya ennyimbe.
Abataka baliko ekiwandiiko kyebabaze ekigenda okulambika abaganda ku ngeri entuufu ezirina okugobererwa mu kwabya ennyimbe.
Ekiwandiiko kirambika ku ngeri omusika gy’alondebwamu, okutaambuza olumbe, ebikolebwa mu ku sumika, obuvunaanyizibwa bw’omusika n’ebirala.
Ssaabalabirizi wa Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu yebazizza abataka okulambika abazzukulu ku nkola y’ebintu bingi ebibadde binaabuuse, naawa eky’okulabirako ekyemitimbagano egissibwako ebintu ebitasaanidde.
Minister w’Obuwangwa Ennono, embiri ,Amasiro n’Ebyokwerinda Owek Anthony Wamala ategeezezza nti waliwo Obwetaavu bwokuteeka ebikwata ku Buwangwa bwa Buganda mu buwandiike, okwewala amalindirizi.
Amyuka Administrator General Henry Kuloba, asomesezza ku mateeka g’Obusika amawandiike, gagambye nti ssinga gassibwaamu ekitiibwa gaakumalawo enkaayana mu basika.
Omusomo guno gwetabiddwaako ebikonge mu Bwakabaka omubadde Abalangira, Abambejja, ba minister mu Bwakabaka ,abaami b’Amasaza nabantu abalala bangi.#
Bisakiddwa: Kato Denis